Abantu n’ebitongole ebyenjawulo bongedde okukwasizaako abantu abaakoseddwa okubumbulukuka kwa kasasiro mu bitundu ebye Kiteezi mu Kyadondo.
Bank y’eby’obusuubuzi eya Absa Bank, ewaddeyo obukadde bwa shs 100.
Abantu abaakosebwa okubumbulukuka kwa kasasiro, mu kiseera kino basuzibwa mu weema, ssonga bangi balina ebyetaago omuli emmere, amazzi, ebyokwebikka nebirala nabyo byakkekwa.
Abantu 30 bebaakakasibwa okufiira mu njega eyokubumbulukuka kw’entuumu ya kasasiro e Kiteezi.
Mu ngeri yeemu, Ssaabasumba w’essaza ekkulu erye Kampala Paul Ssemogerere alina obuyambi bwatisse Chancellor w’essaza ekkulu erye Kampala Rev Father Pius Male Ssentumbwe, okudduukirira abaakoseddwa.
Baleese obuwunga, omucceere, sukaali, sabuuni nebirala.
Robert Kwesiga, ssenkulu wa Uganda Redcross society agamba nti abantu okuva mu maka agasoba mu 200 bebabundabunda nga betaaga kuyambibwa.
Irene Nakasiita, omwogezi wa Uganda Redcross Society, agamba nti obwetaavu mu kukwasizaako abantu bano, bukyali bungi ddala ngaate ebikozesebwa tebimala.#