Police ye Jinja etandise okusunsulamu bateberezebwa okuba abamenyi b’amateeka beyakutte mukikwekweto kyeyakoze mu Jinja Northern division mu Jinja City.
Gyebiggweredde ng’ekikwekweto kiyooleddemu akulira eby’okwerinda ku kyalo Wannyange Lake village ayitibwa Michael Mugoya abadde ku mirimu gye ng’alawuna ekitundu.
Omwogezi wa police owa Kiira region SP Mubi James agamba nti ekikwekweto bakikoze mu bitundu bye Budumbuli, Bugembe, Buweekula, Nakanyonyi n’ebirala.
Agamba nti okulaajana kubadde kungi mu batuuze n’abayise ababbibwako ebyaabwe emisana n’ekiro.
Asiimye amagye naabamakomera abakwasirizzaako ku police okuwenja bakyalakimpadde abasuza abatuuze ku tebuukye.
Abalina ebiboogerako ebimatiza baakuyimbulwa ate abakyamu batwalibwe mu kooti ku Friday nga 23.June.
Bisakiddwa: Kirabira Fred