Eddwaliro lye Mengo litegese olusiisira lw’ebyobulamu olugendereddwamu okusomesa abantu ku ngeri y’okulabirira emibiri gyabwe obulungi okulwanyisa endwadde.
Olusiisira luno lulimu okusomesa ku by’obulamu ebyenjawulo n’okukebera abantu endwadde ez’enjawulo, mu baami n’abakyala.
Lutandika ku lw’okusatu luno nga 18 lukomekkerezebwe nga 20 omwezi guno ogwa May 2022.
Abasawo bagamba nti abalwadde bangi tebakyaddukira mu malwaliro kufuna bujjanjabi mu bakugu, ekiviriddeko endwadde enzenjawulo okweyongera mu bantu, nabamu okufiira ku byalo mu kisiiri, n’endwadde ezimu okugonera mu mubiri olw’obutafuna ddagala lisaanye.
Bagamba nti kivudde ku muggalo gwa Covid 19, ogwaleetera abakozi bangi okuwummuzibwa ku mirimu, naabamu okusalibwa emisaala, saako ne business nnyingi ezaakosebwa mu byenfuna nezimu neziggalirawo ddala.
Dr. Rose Mutumba akulira eddwaliro lye Mengo agamba nti embeera eno ewalirizza abakugu mu Mengo, okutegekawo olusiisira lw’eby’obulamu olw’okujjanjaba abantu endwadde okuli kookolo, endwadde z’emitima, sukaali, amaaso, amannyo, nebirala ngemu ku nkola eyokuddiza ku bantu abatawanyizibwa eby’enfuna.
Dr Mutumba mungeri yeemu agamba nti amalwaliro mangi gongezza ebisale by’obujanjabi,nti kubanga ebintu ebikozesebwa mu malwaliro bingi nabyo byongezeddwa omuli nempeke eziweebwa abalwadde.
Dr Suzan Nakireka, omusawo omukungu mu ddwadde ezitasiigibwa era akulira ebyokusomesa ku ndwadde mu ddwaliro e Mengo, agamba nti embeera bannauganda gyebayitamu naddala eyaleetebwa omuggalo gwa covid 19, n’obwavu biviiriddeko abantu obutalya bulungi, n’obutakola dduyiro ekibaleetedde ebirwadde.
Mu ngeri yeemu abasawo abakugu mu ndwadde z’abasajja balabudde abavubuka ku ndwadde emanyiddwa nga Prostatitis, eyongedde okuzuulibwa mu bavubukara abalenzi okuva ku myaka nga 20 okudda waggulu.
Endwadde eno yeefananyizaako endwadde y’enziku, ng’eva ku buwuka obusirikiu obuyingira mu bitundu byekyama ebyabasajja, kyokka nti erummannyo ekisukiridde.
Prof Dr. Michael Kawooya, omukungu mu kujjanjaba endwadde z’abaami naddala kookolo w’abasajja (prostate cancer) agamba nti abavubuka bangi abazuulibwamu endwadde ya prostatitis.
Prof Kawooya agamba nti newankubade endwadde eno, esobola okuwona tekisaanidde kusooka kumira ddagala nga tosoose kwekebejjebwa okujikakasa oba yeyo oba ndwadde ndala
Prof Kawooya akubirizza abasajja okujjumbira olusiisira luno okwekebeza, naddala endwadde ezikosa ebitundu byekyama, olw’okuba nti obubonero bwazo obusinga obungi bufaanagana.
Mu zino mulimu Prostatitis, Prostate cancer n’okugaziwa kwa prostate ekimanyiddwa nga prostate enlargement.
Mu mbeera yeemu, Dr Ken Chapman Mwesigwa Kigozi, omukugu mu byamannyo mu ddwaliro e Mengo, alabudde abaami ku ndabirira yamannyo gabwe, nti bangi bakyalemereddwa okugalongoosa n’okugakuuma obulungi
Bisakiddwa: Ddungu Davis