Abakulembeze mu District ye Buduuda bakiikidde government ensingo, bagamba nti omuwendo gw’esimbi obukadde 17m zeyasazeewo okuliyirira abatuuze bonna abasangibwa mu bifo ebitawanyizibwa okubumbulukuka kw’ettaka ku lusozi Masaaba[Elgon] babyamuke nti sente ezo ntono nnyo.
Bino bituukiddwako mu nsisinkano ekubiriziddwa Ssaabaminister Robinah Nabbanja Musafiiri nga yetabiddwamu abakungu mu ministry y’ebyettaka,abakulembeze mu District okuli Buduuda, Manafwa, Sironko,Tororo nga bano bebasinga okukosebwa okubumbuluka kw’ettaka námataba.
Government yakkiriza okugula ettaka ku batuuze bonna mu bitundu ebyo ku bukadde 17m buli omu bagende beegulire ettaka mu bitundu ewalala, oluvanyuma lwókukizuula nti okubazimbira amayumba nga bweyasooka okukola mu district ye Bulamburi nti kitwala ensimbi nnyingi.
Mu nsisinkano eno era government yakkiriza okusookera ku bantu 200 wiiki ejja.
Mu ngeri yeemu Ministry y’ebyettaka saako ekitongole ekya Uganda Wildlife Authority bakugenda mu kitundu kino okutandika okupima ettaka lino nókumanya bannyiniryo, basobole okuweebwa sente zabwe mu bwangu.
Wabula abaekulembeze mu District ye Buduuda nga bakulembeddwa ssentebe wa district eno Milton Kamooti Wasunguyi bagamba nti obukadde 17m nsimbi ntono nnyo, bw’ogerageranya ne bbeeyi y’ettaka mu bifo abantu webasobola okugula ate bazimbeko n’ennyumba ekiyinza okubakaluubiriza.
Wabula ssabaminister Robina Nabbanja Musafiiri ategezezza nti abantu 200 abagenda okusookerwako kwebagenda okusinziira okutwala mu maaso enteekateeka eno oba okugikyusaamu..
Ssaabaminister Nabbanja era alagidde Ministry y’ebyettaka okwanguwa okuzimba enkomera ku ttaka okwali abatuuze mu District ye Buduuda government beyazimbira amayumba agasoba mu 102 mu District ye Bulamburi, nti kubanga bangi ku bano batandise okudda okwesenza ku ttaka lino basobole okuweebwa ku nsimbi zino.
Okuva mu mwaka gwa 2010 abantu ababeera okumpi n’ensozi abakunukkiriza 500 bebaakafa nga baaziikibwa ettaka eribumbulukuka ku lusozi Masaaba, saako okusanyaawo ebyalo ne business nga liva ku nkuba etonnya n’okwanjaala kw’emigga, saako okutema emiti egyandikutte ettaka.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius