Abantu 77 bebaafiiridde mu bubenje obwenjawulo ku nguudo z’eggwanga ezitali zimu mu wiiki emu yokka eyise.
Alipoota ya police y’ebidduka eraze nti ku bantu bano 77; 25 bagoba ba boda boda, 22 baali batambuza bigere ku nguudo nebabatomera ku nguudo ez’rnjawulo, ate 7 baali basaabaze.
Police ye bidduka egamba nti obubenje buno businze kuva ku bagoba b’ebidduka abavugisa ekimama.
Omwogezi wa police y’eidduka mu ggwanga Micheal Kananura ategezeza banamawulire ku Kitebe Kya police e Nagguru nti basazeewo okuttukiza ebikwekweto eri abagoba b’ebidduka bonna abatalina biwandiiko, n’abavugisa ekimama.#