Abantu 7 bebaakazuulwa nga baafiiridde mu kubumbulukuka kw’ettaka okwavudde ku namutikkwa w’enkuba eyafudembye mu bitundu bye Kasese ne Bunyangabu.
Abana bebaasose okuzuulwa nga baafiiridde mu kubumbulukuka kw’ettaka neriziika ennyumba mwebabadde basula, babadde ku kyalo Kateebwa mu district ye Bunyangabu.
Abagenzibye Kabugho Harriet myaka 25, Biirah Evelyn mya 37, Musoki prase myaka 11 ne Mumbere Junior abadde wa myaka 4.
Abalala 3 okuli taata, maama n’omwana nabo bazuuliddwa mu bifunfugu by’enju eyabagwiridde ku kyalo Mapata mu muluka gwe Katooke mu ggombolola ye Bugiya mu district ye Kasese.
Irene Nakasiita ayogerera ekitongole ekya Uganda Redcross Society, agamba nti bakyali ku kawefube okwongera okutaasa abantu abateeberezebwa okuba nga baawagamidde mu nnyumba ezaagudde, so nga waliwo n’abalala bangi beetagamu obuyambi obwenjawulo naddala abaasigadde n’ebisago.
Bisakiddwa: Ddungu Davis