Enteekateeka y’okuyiikuula abantu 7 abagambibwa okuba nga bakyawagamidde mu ttaka ery’aziise ebyalo ebiwerako mu district ye Bulamburi akyagudde butaka.
Abakulembeze b’e kitundu kino nga bakulembedwa Annet Nandudu ssentebe wa District ye Bulamburi bagambye nti amakubo amafu gakyalemeseddwa ebimmotoka bi wetiiye ne ggunduuza okutuuka mu kitundu ewagudde enjega eno.
Ssabaminister w’e ggwanga Robinah Nabbanja Musafiiri ayise olukiiko olw’enjawulo okusala amagezi ku ngeri yókuyambamu abantu ku byalo okuli Masugu,Namakere,Kagulu ne Namagugu mu Muluka gwe Baluganya mu District ye Bulamburi.
Namutikwa we nkuba eyafudembye mu kitundu yavuddeko ettaka ku lusozi Masaaba okubumbulukuka, neribuutikira ennyumba.
Omulambo gwa Sibolo Stephen guzuuliddwa, kyokka nga mumaka mweyabadde bazadde be bonna nebaganda be nókutuusa kati tebalabikako.
Wabadde wakyaliwo essuubi nti oba olyawo bakyawagamidde mu bifunfugu by’ennyumba, wabula emmotoka zi ggunduuza ezibadde zireeteddwa okuyiikuula ettaka ziremereddwa olw’amakubo.
Kyokka bino bibadde bikyaali bityo nga nábakulembeze mu District eye Buduuda nga bakulembeddwa ssentebe wa district eno Milton Kamooti bakaaba, nti embeera yeemu yandiddamu mu kitundu kyabwe olw’enkuba efudemba buli lunaku, sso nga government ekyalemereddwa okubawa ensimbi obukadde bwa shs 17, buli Family okusengula abantu baayo okudda mu bitundu ebirala.
Bisakiddwa: Ssebuliba William