Abantu 5 bakakasiddwa nti bafudde, abalala tebalabikako, eryato mwebabadde basaabalira libabbise mu nnyanja Nalubaale mu kiro ekikeesezza leero nga 30 September,2024 ku ssaawa nga musanvu ekiro.
Babadde bava ku kizinga Lujaabwa mu gombolola ye Maziinga e Ssese Kalangala, nga badda Lambu mu Masaka.
Okusinziira ku mumyuka wa RDC e Kalangala Henry Lubuulwa, abafudde bakategeerekako erinnya limulimu; Robert, Kasimu Mukisovve awamu ne Kato mutabani wa Hakim Ssegawa owa mobile money ne Kayiwa nga bonna be Lujjabwa, mu gombolola y’eMaziinga.
Abamu ku bawonyeewo kuliko Sam Kiyimba e Lujaabwa atemezza ku police n’abantu ba bulijjo bebatandika okunoonya abakyabulidde mu nnyanja.#