Abavubi ku kizinga Zinga mu gombolola y’e Bugaya eBuvuma bazudde emirambo gya banabwe etaano abagudde mu Nyanja Nalubaale bwe babadde bava ku kizinga Zigunga okwetaba mu bikujjuko ebimalako omwaka ebyategekeddwa omusawo w’ekinansi ku kizinga ekyo.
Kigambibwa nti olwamaliririza ebbinu nebalinnya eryato okudda gyebaavudde, olwo neryabbika mu nnyanja.
Akulira ebyokwerinda ku kakyalo kino Ismail Kayongo ategezezza nti babadde bava ku bikujjuko ebyolusooka omwaka ebitegekebwa omusawo w’ekinansi ategerekeseeko erya Malinzi ku kizinga Zigunga nga bino abitegeka buli nkomerero ya mwaka .
Kigambibwa nti eryato lino lyabaddeko abantu nga 20, wabula 15 baasobodde okwetaasa naye abalala ne balemererwa naddala abaana bato.
Ismail Kayongo agambye nti emirambo gyonna 5 okuli Mande Bukenya nga ono yeyabadde omugoba w’eryaato lino , Sabano Night ,Nagitta Lydia,Angel Namuwaya, ne Sincere Nantaba bamaze okugyizuula nga mukiseera kino balinda poliisi okuva eBugaya ebabulire ekiddako.
Ssentebe w’egombolola y’eBugaya Sserwanja John Baptist yennyamidde olw’embeera eno kyoka n’alabula abagoba b’amaato okukomya okutika obubindo.
Bisakiddwa: Ssebwami Denis