Abantu 5 ababadde bagenze okulambuka bafiiriddewo mbulaga; nábalala 5 baddusiddwa mu Ddwaliro nga biwala ttaka, mmotoka mwe babadde batambulira bw’enuuse néremererwa okusiba.
Akabenje kano kagudde mu District yé Kapchorwa.
Abalambuzi bano baabadde bagenze kwewummuzaamu nókulambula, mu ggandaalo lya Ssekukkulu.
Kigambibwa nti abafudde bonna batuuze bé Bulaga mu Wakiso, nga kubano kuliko nómwana owémyaka 8.
Okusinziira ku Deo Ssekimera omu ku mikwano gyábagenzi, abafudde ba mu family 3 ezaagenze mu kulambula okwo.#