Abantu 5 bafiiridde mu kabenje ka mmotoka ekagudde Kiwawu ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mityana, ng’obudde busaasaana nga 17 August,2024.
Babadde batambulira mu mmotoka Ipsum No.UAS 999R ebadde eva ku kudda olwe Kampala.
Omugoba wa Ipsum avudde ku mukono gwe ng’agezaako okusala ekinnya ekiri mu Luguudo, gyayambalaganidde ne Fuso Boxbody no.UBM511K ebadde eva e Mityana.
Abafudde bonna basajja nga kutegeerekeseeko Ssempala Fredrick, Kigozi Francis ne Sserubombwe Albert nga bonna batuuze be Ssumbwe Bulenga mu Wakiso.
Kigambibwa nti abafudde bonna babadde baluganda nga babadde bagenda waabwe mu bitundu bye Mubende.
Ayogerera police mu bitundu bya Wamala Racheal Kawala agambye nti Omugoba wa Fuso ataddeko kakokola tondeka nnyuma ng’akabenje kakagwawo, nga mu kiseera kino akyawenjezebwa.
Emirambo gyitwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Mityana, ate emmotoka ezikoze akabenje zitwaliddwa ku police e Mityana.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi