Abantu 3 bafudde n’abalala nebafuna ebisago ebyamaanyi, emmotoka Taxi Drone mwebabadde basaabalira ekutte omuliro nesaanaawo mu kibuga Jinja.
Aberabiddeko n’agaabwe bagamba nti taxi namba UBA 463V ebadde ekubyeko abasaabaze, era ng’ebadde yakasimbula mu paaka ye Jinja ng’eyolekera Kampala.
Bagamba nti bawulidde okubwatuka okwamaanyi, ekiddiridde kulaba muliro nga gutuntumuka mu taxi.
Bafunye ebidomola by’amazzi nebagiyiira wabula omuliro gubasinzizza amaanyi.#