Abantu 4 bebagambibwa okuba nga bafiridde mu kabenje e Maya okumpi ne London college, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka, taxi eyabise omupiira nekasuka abasaabaze mu kitoogo.
Taxi No.UAN 028 S kigambibwa nti ebadde eva mu bitundu bye Mpigi ng’edda Kampala.
Police ye bidduka etuuse negyawo emirambo n’abakoseddwa nebaddusubwa mu malwaliro.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif