
Kkooti ya City Hall mu Kampala esindise abantu 34 mu kkomera e Kitalya, babalanze kutayaaya mu kibuga Kampala nga tebalina kyebakolamu.
Abantu bano 34 basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Valerian Tuhimbise, nebegaana omusango gwokwefuula ekitagasa n’okumala gatayaaya.
Omulamuzi abasindise ku alimanda okutuusa nga 25th omwezi guno ogwa may 2022, ng’okunoonyereza ku musango gwabwe bwekugenda mu maaso.
Abantu bano bakwatibwa Police mu bitundu okuli; Namungoona, Kasubi, Lugala ne Nakulabye nga kigambibwa nti baali batayaaya mu bitundu ebyo nga tebalina mulamwa.
Okusinziira ku ludda oluwaabi bano bakwatibwa wakati wa 1st ne 7th omwezi guno ogwa May.