Abantu 31 okuli okuli ba pastor, abajaasj ba UPDF ne Police saako abantu ba bulijjo bavunaaniddwa emisango gy’okusekeeterera government.
Abantu bano abasinga baakwatibwa mu bukiika kkono bw’eggwanga, nga kigambibwa nti babadde bayeekera government okuyita mu kabinja kabwe aka Uganda Lord’s Salvation Army n’ekigendererwa eky’okusuula governement eri mu buyinza.
Kigambibwa nti ng’ennaku z’omwezi 12 October,2023 abakwate baasangibqa n’emmundu kika kya SMG nga mulimu ne magaziini y’amasasi 21 ku kitundu kya Ojwina Quarters mu Lira city.
Kooti y’amagye etudde e Makindye, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Lt Col Raphael Mugisha ne Lt Alex Mukwana bategeezezza nti abakwate emisango baagizza wakati wa October 2022 ne October/2023, mu bitundu bye Lira, Masaka, Arua, Kampala,Bidi Bidi Camp mu Yumbe District ne Juba City mu South Sudan.
Bwebaleeteddwa mu kooti etuulako abalamuzi 7 ng’ekulemberwa ssentebe waayo Brigadier General Freeman Robert Mugabe emisango egibavunaanibwa bagyegaanye.
Abajaasi baziddwayo ku alimanda mu kkomera ly’enkambi y’amagye erya M akindye Military Police Prison, ate abantu ba bulijjo basindikiddwa mu kkomera lye Kigo okutuusa nga 22nd/January/2024 ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.#