Abantu 3 bafiiridde mu nnyanja ku mwalo gwe Kyitatengwa ku nnyanja kacheera mu Gombolola ye Kacheera mu district ye Rakai, bwebabadde basomoka okugenda ku lukalu okunoonya ekyokulya.
Abafudde kuliko Zabahunda Cordi, Nabahwa Tushabe nomulala atanategerekeka mannya.
Abasatu bano batuuze be Kamwenge, wabula babadde baakagenda e Kyitategwa okupakasa emirimu gy’obulimi.
Havuga Dusabe Omu ku muganda w’abafudde agambye nti omuyaga ogw’amaanyi eryato kwebabadde gulisanze wakati mu nnyanya, negubakuba nebagwa mu mazzi nebafiiramu.
Emirambo gizuuliddwa negiwebwa ab’oluganda bagende baziike.
Bisakiddwa: Kanwagi Baziwaane