Abantu 3 bafiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde mu tawuni ye Wobulenzi mu district ye Luweero, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggulu.
Akabenje kano ketabiddwamu emmottoka ssatu okuli lukululana namba KBN 670P/ZB 3158 eya kampuni ya Palm Oil Transporters, endala kuliko ISUZU Elf namba UBJ 673Y ne ISUZU Forward nnamba UBM 860S
Twinamazima Sam omwogezi wa police mu bendo bendo lya Savannah ategezeza nti abafudde kuliko ategerekeseeko erya Paul n’omulala ategerekeseeko erya Elisa omutuuze we Busaawa Ssemuto mu district ye Wakiso nga bano bombi babadde mu mmotoka ya ISUZU Forward nnamba UBM 860S.
Omulala afudde ategerekeseeko erya Richard mutuuze we Gayaza -Namavundu ng’abadde atambulira mu mottoka ya ISUZU ELF nnamba UBJ 673Y
Twinamazima Sam ategezezza nti okunoonyereza okukoleddwawo kulaga nti lukululana nnamba namba KBN 670P/ZB 3158 ebadde eva ku ludda lwe Kampala yevuddeko akabenje.
Mmotoka eno kitegeerekese nti ebadde mu lusengeredde lw’emottoka 8 ezibadde zigenda mu nkambi y’amagye eye Nakasongola nga zetiise ensawo za Ammonium Nitrate, wabula bwesanze ginaayo ekolera mu kampuni yeemu ng’efunye obuzibu kwekuyimira ate n’esiba emottoka eziva e Kampala okudda e Gulu.
Wano lukululana endala nnamba KBN 607P/ZB 3158 okugezaako okuwagaanya okufuna weyita, gyesanze emottoka endala nnamba UBJ 673Y ebadde yetisse Amanda negitomera era newaba, olwo n’eyingirira emmotoka endala ebadde eyimiridde emabbali g’ekkubo No. UBM 860S negisindiika mu kizimbe ekibadde kiriranyeewo.
Twineamiziima ategezeza nti abantu 3 ababadde mu mmotoka zino bafiiriddewo , omulala afudde atwalibwa mu ddwaliro
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico