Emirambo 20 gizuuliddwa, 9 banunuddwa ku bantu 34 abagambibwa okuba nti bebabadde basaabalira ku lyato erikubiddwa ejjeengo ku nnyanja Nalubaale.
Police etegeezezza nti akabenje kano kavudde ku kutikka akabindo n’embeera y’obudde etabuse olwo ejjeengo nerikuba eryato.
Akabenje kaguddewo ku ssaawa nga kkumi n’emu ng’obudde busaasaana.
Babadde bava ku mwalo gwe Ntuuwa – Lwanabatya e Kyamuswa mu district ye Kalangala libadde ligenda ku mwalo gwe Kasenyi mu gombolola ye Katabi mu Wakiso.#