Abantu 2 bafiiriddewo mbulaga saako omwana afudde ng’addusibwa mu ddwaliro, ate abalala 12 bakoseddwa nnyo mu kabenje akagudde ku kyalo Bujaabe mu gombolola ye Nakitoma mu district ye Nakasongola, ku luguudo oluva e Kampala okugenda e Gulu.
Omwogezi wa police mu kitundu ekyo Sam Twinamazima agambye nti abafudde tebanategeerekeka mannya.
Kigambibwa nti akabenje kavudde ku Bus ya kampuni ya Nile Star No.UBD 215 R evuddeko omupiira negukuba Taxi No. UBR 783 N, nga zombi zibadde ziva ku ludda lwe Kampala okwolekera Gulu.
Taxi olukubiddwa omupiira neewaba neyingirira emmotoka endala Isufu Elfu No. UBP 557 B, ebadde eva ku ludda lwe Gulu ng’edda Luweero.#