Abanoonyi b’obubudamu 1202 okuli abakyaala n’abaana okuva mu maka 219 bebaddukidde mu Uganda naddala mu district ye Bundibugyo, nga bava mu bugwanjuba bwa Democratic Republic of Congo.
Irene Nakasiita omwogezi w’ekitongole kya Uganda Red Cross Society ategezezza nti bongedde okutekawo abantu abayambako abanoonyi b’obubudamu abavudde e Congo, okubafunira entambula ebatuusa mu nkambi, okubafunira eby’okulya, eddagala n’ebirala.
Ssentebe wa district ye Bundibugyo Robert Tibakunirwa agambye nti okusoomoozebwa kwebasinze okusanga by’ebyensoma y’abayizi abali ku ssomero lya Butoogo Primary School ewabudamye abacongo abangi.
Agambye nti abacongo abamu bagaanye okuvaayo ku ssomero okugenda mu nkambi ye Bubukwang transit center nga balowooza nti embeera eggyakuterera mangu baddeyo ewaabwe okusobola okukungula ekirime kyabwe ekya Cocoa
Robert Tibakunirwa ategezeza nti bagenda kuddamu okwogera n’abanoonyi b’obubuddamu okusobola okubasikiriza okuva mu massomero basobole okutwalibwa mu nkambi z’abanoonyi b’obuddamu gyebasobola okubeera obulungi, n’abayizi baddemu okusoma oluvannyuma lwa wiiki nnamba.
Eweze wiiki namba ng’abayeekera balumbye ebyalo ebiwerako mu buvanjuba bwa Democratic Republic of Congo, nebasanjaga abatuuze n’abandi nebasala ensalo nebaddukira mu Uganda.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico