Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okusitula obuzito mu Uganda ekya Uganda Weightlifting Federation, kirangiridde nti empaka za Uganda Weightlifting Open Championships zitandika nga 21 omwezi guno ogwa May 2022 e Kasubi.
Empaka zino zigenda kwetabwamu abasajja n’abakazi okuva mu club ezenjawulo okwetoloola Uganda yonna.
Omwogezi wa Uganda Weightlifting Federation, Isa Kanda, agambye nti basubira okuwandika abazannyi abasuka mu 30 okwetaba mu mpaka zino, 10 bebakewandiisa.
Empaka zino zigenderedwamu okwetegekera empaka za National Weightlifting Championships ezigenda okubeerawo nga 18 June,2022 e Nansana.
Mungeri yeemu empaka zino zakuyamba okuteekateeka ttiimu y’eggwanga egenda okukiikirira Uganda mu mpaka za Commonwealth Games, ezigenda okubeera e Birmingham Bungereza ezitandika mu July 2022.
Abazannyi 2 bokka bebagenda okukiikirira Uganda mu mpaka z’okusitula obuzito mu Commonwealth Games, okuli Baligeya Godfrey owa club ya Black Monster ne Niyoyita Davis owa club ya Kisugu.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe