Okusunsulwamu abanaavuganya mukazannyo ka CBS Bingwa kukomekkerezeddwa, nga mwetabiddwamu abantu abasoba mu 500.
Abantu 110 balangiriddwa okwetaba mu kazannyo kano, omukolo gubadde mu Bulange e Mengo.
Abagenda okuvuganya mu Bbingwa wa Mabingwa bali 49.
Abanaavuganya mu Bingwa Extra ow’ebibinja nabo basunsuddwa, wakwetabwamu ebibinja 12 by’abantu babiri babiri.
Abanaavuganya mu Bingwa Ttoto ow’abaana bali 37.
Ku mulundi guno teri mukyala yewandisiizza kuvuganya.
Akuliddemu okubasunsula okuva mu kitongole ky’ebyemizanyo ekya CBS Ntambi James agambye nti okuvuganya mu studio kwakutandika nga 3 July,2023.
Akazannyo ka Bingwa wa Mabingwa kakuggalwawo nga 6 August,2023 mu kisaawe e Kitende.
Omuwanguzi wakusitukira mu kyapa ky’ettaka ekyawereddwayo aba Njovu Estate Developers.#