Bannanyini business ezenjawulo mu district ye Gomba batendekeddwa ku ngeri gyebayinza okuganyulwa mu nteekateeka ey’okusima omudumu ogugenda okutambuza amafuta okuva mu bitundu ebye Bunyoro okutuuka mu Tanzania.
Ekitongole kyeby’amafuta mu ggwanga ki Petroleum authority of Uganda (PAU) nga kiyita mu nteekateeka eya East African Crude Oil Pipeline, kyekigenda nga kitegekera bannyini business emisomo ku ngeri gyebayinza okwetegekamu n’okuteekayo okusaba okutunda ebintu byabwe eri abagenda okusima omudumu ogutambuza amafuta.
District ye Gomba yeemu ku district ezisoba mu 7 ezigenda okuyisibwamu omudumu gw’amafuta.
Kampuni ze Gomba 12 zezeetabye mu musomo ogumaze ennaku 8 nga guyindira mu town council eye Kanoni mu Gomba, era bannyini kampuni ezo babanguddwa ku nsonga y’okukola ebiwandiiko, okuwandiisa business zabwe mu mateeka nebirala bingi.
Omukungu okuva mu kitongole kya Petroleum Authority of Uganda Bintu Peter Kenneth ategeezezza nti bagenderedde okusomesa abantu ankola zookuwandiisa business zabwe zituukagane n’omutindo, nokwewandiisa mu ntegeka ya National Suppliers data base, okuganyulwa mu mafuta agagenda okuyita mu bitundu byabwe.
Mu kiseera kino, enteekateeka z’okusasula bannyini ttaka omudumu gw’amafuta wegugenda okuyisibwa nazo zigenda mu maaso era kisuubirwa, nti okusasulwa kusuubirwa okutandika mu mwezi gwa July omwaka guno 2023.
Bisakiddwa: Sserugo Patrick