Abasawo ba Uganda mu ddwaliro ekkulu erye Mulago, basimbulizza ensigo okuva mu muntu omu okujizza mu mulala omulundi ogusookedde ddala okukolebwa mu Uganda.
Abasawo ababalongoosezza bategeezezza nti abantu bombi basuuse bulungi.
Ng’ennaku z’omwezi 23 March,2023 president Museveni yateeka omukono ku tteeka erikkiriza abasawo okusimbuliza ebitundu by’omubiri okuva ku muntu omu okudda ku mulala.
Abasawo ba Uganda e Mulago nga bakulembeddwamu Dr. Frank Asiimwe, ngono yaamyuka president w’ekibiina ekitaba abasawo mu Uganda ekya Uganda Medical Association, (UMA), baayambiddwako abakugu okuva mu ddwaliro lye Yashoda eririna amakanda mu ggwanga lya Buyindi.
Bw’abadde akyalidde abakugu abakoze omulimu guno, minister weebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero, agambye nti Uganda ebadde erina obuzibu okujjanjaba abantu abalina endwadde z’ensigo.
Minister Acenge ategeezezza nti mu Uganda abantu ebitundu 2% balina ebirwadde by’ensigo, era nga babadde baddukira mu mawanga geebweru okufuna obujjanjabi ekifiiriza Uganda ensimbi.
Minister Achenge agamba nti okuva ekirwadde kya Covid lwekyabalukawo, kyayongera okusoomoza n’okuzuula nti ebyobujjanjabi byetaaga okutereeza, era government eriko ensimbi zeyakunganya okuva mu African Development Bank, okwongera okwongera okutereeza amalwaliro gaakuno.
Minister Acenge, agambye nti okulongoosa kuno okwokusimbuliza ensigo zabalwadde, kwakolebwa nga 20 December,2023 era kwatwalidde abasawo essawa 4 okukumaliriza.
Okulongosa kuno kwakolebwa wakati w’esaawa 2 oku n’omukaaga ogw’emisana.
Agambye nti kino kyekimu ku birabo bya ssekukkulu, eddwaliro lye Mulago byeriwadde banna Uganda era nti baguliddewo amalwaliro amalala okukola obukugu buno.
Bisakiddwa: Ddungu Davis