Bajjajja Abataka abakulu b’Obusolya basanyufu nnyo olw’abazzukulu babwe Abaluηηamya b’emikolo olw’okutambulira ku nnambika entuufu mu ntambuza y’emikolo, eyoleka nti batandise okusitula omutindo mu nkola y’omulimu gwabwe.
Nnamwama abadde aggalawo Ssemasomo w’abaluηηamya ow’omulundi ogw’omukaaga akulungudde ennaku bbiri mu Bulange e Mmengo.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Nnamwana Augustine Kizito Mutumba yeebazizza abaluηηamya n’abasaba okwongera okusitula omutindo gw’obuweereza bwabwe naddala mu mikolo gy’okwanjula, bakomeze ddala katemba mu mikolo gy’ennono kikomyewo ekitiibwa kyagyo.

Abasabye nti mu buli kyebakola olw’omukolo omulungi basaanye okusitula omutindo gwakyo okuviira ddala ku nneeteekateeka okutuukira ddala ku bantu bebakolera emikolo, nti kubanga bebasaale mu nsonga eno.
Ssentebe w’Ekitongole ky’Abaluηamya mu Buganda Ismail Kaggya, agambye nti Ssemasomo w’omwaka guno yeetabiddwamu ababadde aboogezi nga kati bafuuse abaluηηamya abajjudde nga babadde 35, era baweereddwa n’ebiwandiiko ebibakakasa mu buweereza buno okuli, Certificate okuva mu Buganda Royal Institute, Endaga Mwogezi , Ekitabo kya Ssemasomo w’Abaluηamya n’ebirala.
Kaggya agambye nti abaluηηamya bayisiddwa mu masomo ag’enkizo musanvu okuli; Ennambika y’Abataka ku mikolo gy’okukyala, Emitendera gy’okuwasa, Enkozesa y’olulimi mu mikolo, Entambuza n’ennambika y’emikolo gy’okwanjula, okuwasa n’okufumbirwa kw’Abalangira n’Abambejja, Obufumbo bw’Abalongo wamu n’obufumbo bw’Abannankole n’Abagisu.

Kaggya ategeezezza nti mu Ssemasomo mwebayita okugatta omutindo ku Baluηηamya buli mwaka, n’okubawawula basobole okukola emikolo gy’obuwangwa nga tebaseeseetuse ku nnono zaagyo.
Ababangudde Abaluηηamya bano kubaddeko Omuzira mu Bazira Ssaalongo Dr. Abby Kabanda, Omuzira mu Bazira Kayemba Kyran, Ssenga Joyce Naluggya Toomusange, Mukasa Nnabe, n’abalala.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achilleo K.











