Bannayuganda abali mu mulimu gwokulima , okusuubula, okusunsula , n’okukola kaawa mu mmwanyi basabye parliament esazeemu endagaano yémmwanyi government gyeyakola ne kampuni ya Vinci Coffee Company ltd bwebaba nga ddala balumirirwa bannansi.
Babadde basisinkanye ababaka abatuula ku kakiiko ka parliament akalondoola ebyobusuubuzi, nebagamba nti endagaano eno eyolekedde okusaanyawo business zabannayuganda ababadde mu mulimu gw’emmwanyi.
Mu ndagaano eyogerwako, government gyeyakola nómukyala Enrica Pinneti nnyini Vinci coffee Company, government yagiwa enkizo okugula emmwanyi ku bbeeyi gyeba eyagadde, yasonyiyiwa emisolo gyonna, okugikendeereza ku bbeeyi yámasannyalaze.
Government era kampuni eno yagiwa ettaka yiika 25 e Namanve okuzimbako ekkolero lya kaawa, okuwebwa enkizo okusooka okugula obungi bwémmwanyi zonna zeyetaaga, olwo abasuubuzi abalala balyoke nabo bayingire akatale.
Munnamateeka Francis Gimara kulwebibiina by’abasuubuzi n’abalimi b’emmwanyi, abuulidde akakiiko kano, nti endagaano eno emenya amateeka okuli eryogera ku kusonyiwa emisolo, nagamba nti ministry y’ebyensimbi eyakola endagaano eno terina buyinza busonyiwa kampuni yonna misolo, parliament yerina okukikola ng’eyita mu kukola ennongosereza mu mateeka g’emisolo.
Gimara era agambye nti kampuni eno okugiwa obuyinza okugereka ebbeeyi y’emmwanyi, kikyamu kimenya etteeka erikwata ku mmwanyi.
Munnamateeka Daniel Lubogo naye akinoogaanyiza nti endagaano eno emenya era ekontana n’endagaano government yakuno zezze ekola , okuli ezébyobusuubuzi mu mawanga gannamukago ogwa East Africa, COMESA nendagaano endala ezikugira ensi zinnamukago, okuyingira mu ndagaano yonna ewa kampuni emu okugereka emiwendo gyebyamaguzi, ewatali kuvuganya na kampuni ndala
Munnamateeka Lubogo asabye akakiiko nti government bweba yamazima nti egezaako kutumbula kirime kyamwanyi, enkizo gyeyawa kampuni ya VINCI egiwe ne kampuni zabannayuganda eziri mu mulimu gw’emmwanyi,sso ssi kutiitiibya Enrica Pinetti yekka.
Eng Ishak Lukenge kuva mu kitongole kya Buganda ekya BUCADEF abuulidde akakiiko ka parliament kano nti kampuni zabannayuganda ezisoba mu 40, eziri mu mulimu gwémmwanyi zizze zisaga government ezikwatizeeko mu bintu ebyenjawulo okutumbula emmwanyi, wabula nezitafuna kuyambibwa kwonna.
Eng Ishak Lukenge takirumyemu, abuulidde ababaka ku kakiiko nti singa endagaano eno ekkirizibwa okuteekebwa mu nkola, bannayuganda abali mu mulimu guno boolekedde okuguddukamu.
Agambye nti tebajja kubeera nabusobozi okufuna emmwanyi zebatunda eri abaguzi babwe mu mawanga gebweru, nti kubanga kijja kubabeerera kizibu okumanya oba VINCI coffee company enabeera afunye emwaanyi ezimala olwo nabo bafune zebatwaala ebweru okuguza abaguzi babwe
Endagaano eno efuuse kasonsomla, ngábantu abenjawulo bagivumiridde, omuli ebibiina byóbwanakyewa, abasuubuzi, abalimi bémmwanyi, Obwakabaka bwa Buganda, bannaddiini nábantu abenjawulo.