Bannakibiina ekigatta abalimi b’amayirungi basabye Omukulembeze w’eggwanga addemu yerowooze ku tteeka lyeyateddeko omukono erifuga ebiragalagala erya Narcotics Drugs and Psychotropic Substances Act.
Bagamba nti ekirime ky’amayirungi tekirina kuteekebwa mwebyo ebiragalalagala ebyawereddwa mu tteeka lino, nti kubanga kikyabulabe.
President Yoweri Museveni yatadde omukono ku tteeka lino eribadde limaze ebbanga nga lyekenneenyezebwa.
Mu tteeka lino omuntu yonna anaakwatibwa ng’alima, ng’atunda oba ng’alya amayirungi, enjaga n’ebiragala ebirala wakusibwa emyaka 10, oba okusasula engassi ya kawumbi ka shs kalamba.
Abantu bokka abafunye olukusa oba layisinsi okuva mu ministry y’ebyobulamu bebakkirizibwa okubirima ate nga birina okuba ng birimibwa lwakuvaamu ddagala.
Abalimi ba mayirungi abegattira mu kibiina kya Wakiso Miller Growers and Dealers Association basazeewo bekubire omulanga mu government ebasalire amagezi ku kiddako, addala ababadde baasimba emisiri gyabwe ng’etteeka terinayisibwa.
Omubaka omukyala akiikirira district ye Butambala, Aisha Kabanda agambye nti ng’ababaka abakiikirira ebitundu ebirimibwamu amayirungi, bagenda kutuula baddemu okwetegereza etteeka lino mu parliament, n’obuwaayiro obwassibwamu obukuuma abalimi era aggumiza abalimi ba mayirungi obutasattira.#