Amasasi n’omukka ogubalagala bimyoose mu kitundu kye Katonga okumpi n’olutindo olwagwamu ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka, Police n’amagye bwebabadde bagumbulula abatuuze ababadde bagumbye okumpi n’olutindo.
Abakulembeze okuva mu gombolola ye Buwama bakulembeddemu abatuuze ababadde bemulugunya ku nkola y’emirimu gy’abebyokwerinda abakuuma olutindo, nga bagamba nti balemesa obumotoka obutono obubeera bwetisse ebirime byabwe okuyita ku lutindo nti so nga kuyitako n’emmotoka ennene.
Abatuuze balumirizza abasirikale okusolooza ensimbi okuva ku ba ddereeva b’ebimotoka ebinene nebabikkiriza okuyita ku lutindo obudde obwekiro, nti ate obumotoka obutono obwetisse ebirime nebabugaana.
Abasirikale balagidde abatuuze n’abakulembeeze babwe okwamuka okumpi n’olutindo nebasooka besisiggiriza, oluvannyuma bakkirizza okuvaawo ate nebagumba ku kkubo erigenda ku mwalo gwe Ggolo wano police weviiridde mu mbeera nebakubamu omukka ogubalagala okubagumbulula.
Okuva olutindo lw’omugga Katonga werwagwamu mu May 2023, ekitongole ky’enguudo ekya URA kikyagenda mu maaso n’okuluddaabiriza, era nga kikkirizaako emmotoka entono ne bus ezisaabaza abantu okuluyitako, wabula emmotoka ezisaabaza ebintu tezinakkirizibwa kuluyitako.#
Bisakiddwa: Patrick Sserugo