Ssaabawandiisi w’ekibiina ki NRM Dr. Richard Todwong atabukidde banabyabufuzi ne bannauganda bagambye nti bagufudde mugano okwogerera nga NRM ekisukkiridde, bwegutuuka ku kulonda ababaka ba parliament yóbuvanjuba bwa Africa eya East African legislative assembly (EALA).
Todwong agambye nti NRM bazze bagirangira omululu nókwekomya abifo ebisinga obungi, nagamba nti aboogera ebyo balina okusooka okusoma nókwekennenya amateeka kyegagamba.
Annyonyodde nti etteeka lyakirambika bulungi, nti ekibiina ekisinza ababaka abangi mu parliament ya Uganda era kyekirina okusinga okuweereza omuwendo gwábabaka abangi mu EALA.
Ku babaka 9 uganda betwala mu EALA NRM erinako 6, ebibiina ebeisigadde nebigabana 3.
Twodwong okwogera bino, abadde akulembeddemu ba ssaabawandiisi b’ebibiina ebiri mu mukago gwa Inter-party Organization for Dialogue okubadde Fred Ebil Ebil owa UPC, David Opi Alila owa PPP, Herod Kaija owa FDC , Hajji Muhammad Kateregga owa JEEMA ne ssaabawandiisi wa IPOD Frank Rusa, okukungubagira eyali sipiika wa parliament Jacob Oulanyah.
Twadong era alabudde abakungubazi bonna okwewala okwogera ebigambo bye batalinako mutwe namagulu, byagambye nti biyinza okutyoboola omugenzi nabo bennyini okubaleetera obuzibu.