Abalambuzi basatu bakakasiddwa nti battiddwa abagambibwa okuba abayeekera mu kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth National Park.
Okusinziira ku alipoota ya Police, abattiddwa kubaddeko abalambuzi abagwira 2 ne munnauganda 1.
Emmotoka mwebabadde batambulira No.UBF 303C, abatemu bagikumyeko omuliro n’ebeengeya.
Omwogezi we Kitongole ekivunanyuzibwa ku Bisolo mu ggwanga ekya Uganda Wild Life Authority Bashir Hangi agambye nti abattiddwa emirambo gyabwe gisangiddwa ku luguudo Katwe nga tebannayingira butereevu mu kkuumiro ly’e Bisolo erya Queen Elizabeth.
Abafudde abagwira kubaddeko Omungereza omu, omulala munnansi wa South Africa ne munnauganda omukozi mu kampuni ya Gorilla and wildlife Safaris era y’abadde abalambuza.#