Abantu abenjawulo abalambudde omwoleso gwa cbs pewosa batenderezza obuyiiya,obwooleeseddwa nebakubiriza abantu buli omu okubaako kyayiga ate bakisse mu nkola.
Omwoleso guno guyindira mu lubiri e Mengo.
Omwami wa Kabaka Kaggo Agnes Nambirige Ssempa alambudde omwoleso guno, n’akubiriza abazadde okuleeta abaana babeeko byebayiga.
Ssentebe wa district ye Wakiso Matia Lwanga Bwanika yoomu ku balambudde omwoleso leero.
Bwanika agambye nti buli muntu waali alina okwekubiriza okubaako ekintu ky’okola okwekulakualanya,mu nkola ya lwoya lwa munnyindo olweggya wekka.
Ebintu bingi ebyoleseddwa okuli eby’obulimi,ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo,insurance companies,ebyempuliziganya,ebisanyusa,bank n’ebirala.
Waliwo emisomo egyenjawulo abantu mwebayigirizibwa ebintu ebyenjawulo ebiyinza okubakulakulanya omuli okulunda enkoko,okulunda enjuki,okulima emmwanyi n’ebirala.