Ekibinja ky’abalamazi abasoba mu 2000 ekivudde mu ssaza lye klezia erye Fortportal kituuse e Namugongo.
Abalamazi bano batambudde kilometer 300,bangi batuuse bazimbye ebigere.
Bwebabadde bayingira Kampala bakulembeddwamu band ya police.
Bano bebagenda okukulemberamu emikolo gy’omwaka guno ku kiggwa ky’abakatuliki.
Ministry y’eby’obulamu neekitongole ekiduukirize eri abagudde ku buzibu ekya Uganda Red-cross, batadewo enteekateeka yokujjanjaba abantu abatambuza ebigere okugenda okulamaga e Namugongo.
Ayogerera Uganda Red-cross, Irene Nakasiita, agamba nti bataddewo emmotoka za ambulance ku makubo ga mwasa njala eziduukirira abali mu bwetaavu.
Nakasiita agamba nti waliwo nebibinja byabakugu abateekeddwawo okuyambako okunyiga ebinywa byabantu abatambudde engendo empanvu, n’abazimbye ebigere n’amagulu.
Abalamazi bamu batuuse bawenyera nnyo nga nabamu ebigere bizzeeko amabwa.
Abalamazi bano mubaddemu abalamaze omulundi ogusoose, era olutuuse e Namugongo basoose kutendereza Katonda n’omwebaza abajulizi abaafirira eddiini, nti bebaabawa eky’okuyiga.
Bagamba nti balina okukkiriza nti nabo kyekibasobozesezza okutambula kilometer 300 nebatuuka ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo, wakati mu kulumwa ebigere n’amagulu n’embeera endala enzibu zebatambuliddemu naddala ku makubo ewabadde emmotoka nga zijula okubakooma.