Abalamazi okuva mu Mbarara Archdiocese mu kigo kye Kakoma Parish Isingiro abasoose batuuse mu kibuga Lukaya, boolera kiggwa ky’abajulizi e Namugongo.
Batuukidde mu kigo kya St.Jude Lukaya wakati mukukooloobya ennyimba ezitendereza abajulizi ne Katonda, nga babasaba obuwanguzi mu kulamaga kwebaliko.
Ekibinja ky’abalamazi bano abasoose okutuuka mu Lukaya kirimu abantu 57, okuli abaana, abavubuka n’abakadde.
Oluvudde e Lukaya neboolekera Lwera webawummuliddemu okusala amagezi agasala omugga Katonga.
Abaana abetabye mukulamaga batutegezeza ntibasazeewo okulamaga balabe nga bafuna ebyetaago, era balina essuubi nti baakutuuka.
Eyakulembeddemu abalamazi okuva e Mbarara Archdiocese Kabiraho John Mary agamba nti bafunye okusoomozebwa olw’ababbi ababayingiramu, saako n’abantu bebasanga ku makubo nga babategeeza nti Katonga tebaggya kumusomoka.
Bwana mukulu we Kigo kya St. JUDE Rev.Fr. Kiganda Julius bw’abadde ayaniriza abalamazi agambye nti betegese okwaniriza buli omu n’okumuwa obuyambi obwetagisa wadde basanze okusoomozebwa okwenjawulo.
Aduumira police mu Katonga Region etwala omugga Katonga SP Hiriga Dauda agambye nti nga bbo ab’ebyokwerinda bakyasala magezi okulaba nga bafunawo ekitundu abatambuza ebigere webasomokera Katonga, naye nga basuubira kukifuna nga Lunaku lwa wednesday ya wiiki eno, naye kati kikyali kizibu.
Bisakiddwa: Kato Paul ne Nsubuga Muzafaru