Abakyala mu ggombolola ye Bussi mu district ye Wakiso bawanjagidde abakulembeze mu district ye Wakiso okubayambako ku nsonga y’abasajja abaAbalekera amaka n’obuvunanyizibwa bw’okuwEerera abaana, kyoKka nga n’emirimu mwebAali baggya ensimbi naddala okufumba akabeero byonna byagotaana oluvanyuma lwa government okugobaganya abantu ku nnyanja .
Bino babyanjulidde abakulembeze babwe bwebabadde bakuza olunaku lw’abakyala mu ggombolola ye Bussi olwategekeddwa ekitongole ekivunanyizibwa ku ddembe ly’ebyokulya ekya FIAN UGANDA ku SINZA RESORT nebategeeza nti abasajja baabalekera emaka.
Ssentebe w’eggombolola eno eye Bussi Mukalazi Charles Ssenkandwa asabye abakulembeze okuvaayo okuyambako ku bavubi abakwatibwa oluvanyuma lw’ekiragiro kya minister w’obuvubi Christine Adoa kyeyayisa ng’awera mukene, era naasaba government eddize abavubi ennyanja.
Ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu district ye Wakiso Elly Kasirye wamu ne ShaficK Kagimu omukwanaganya wemirimu mukitongole kya FIAN UGANDA basuubizza nti akakiiko k’eddembe ly’obuntu kagenda kutandika okulondoola ensonga y’abavubi abagambibwa okuba nga abazenga bakwatibwa mu bumenyi bw’amateeka era nebasaba ne government okuddamu okwetegereza etteeka ly’obuvubi eryayisibwa .
Omubaka omukyala owa district ye Wakiso Betty Ethel Naluyima agamba nti wakuddayo mu parliament nate okwanjula ensonga zabavubi kubanga ensonga zasaanze e Bussi zanjawulo kwebyo minister w’obuvubi zeyabaanjulira.
Ssentebe wa district ye wakiso Dr Matia Lwanga Bwanika agamba nti kati mu budde buno district amaanyi g’okuyamba abantu mu bizinga bagatadde mu kakiiko keddembe lyobuntu nebitongole byanakyewa .
Bisakiddwa: Tonny Ngabo