Abakyala baweereddwa amagezi okukozesa ab’obuyinza n’embuga z’amateeka buli lwebesanga mu mbeera ezibanyigiriza n’okutyoboola eddembe lyabwe.
Government nayo esabiddwa okwongera okukozesa omukono ogwekyuuma ku bantu abatyoboola eddembe lyábakyala nábaana okwetoloola eggwanga, n’okufuna obwenkanya ku ttaka nébyobusika.
Bino bituukiddwako mu nsisinkano y’abakyala abanoonya obwenkanya n’abalwanirira eddembe ly’a baana etegekeddwa ekitongole ki FIDA Uganda,okutema empenda ku ngeri y’okuyambamu abakyala okufuna obwenkanya mu nsonga ezenjawulo.
Ensisinkano eno ebadde ku Golden Tulip Hotel mu Kampala.
Ssaabawolereza wa government Kiryowa Kiwanuka agambye nti alipoota zonna ezizze zikolebwa ku bakyala, ziraze lwatu nti okutyoboola eddembe lyábakyala kiriko engeri gyekifiirizzaamu ebyenfuna byéggwanga, olwokukola emirimu egitaliiko kusasulwa nga bali mu maka.
Kiryowa Kiwanuka mungeri yeemu alaze obunafu bwéssiga eddamuzi mu kugonjoola emigozoobano ku ttaka,kyagambye nti kiviiriddeko bannansi obutaba na bwesigwa mu kooti.
Minister wékikula kyábantu Betty Amongi asabye abazadde abasajja okulwanyisa obusosoze mu abaana wakati w’abawala ku balenzi, babatwaale kimu ne mu masomero ne mu ngabanya yébyobugagga nga bwekiba kyetaagisa.
Ssenkulu wékitongole ekirwanirira eddembe lyábakyala ki FIDA Uganda Lilian Byarugaba Adriko awadde abakyaala amagezi obutakoowa kuddukira mu babuyinza ssinga baba batuusiddwako obulabe bwonna.
Mu ngeri yeemu naabasaba okukomya okutwalira amateeka mungalo.