Police ye Wandegeya mu Kampala ekutte era neggalira abakyala bannabyabufuzi abakedde okwekalakasiza ku nkulingo ye Mulago, nga bawakanya ebbeeyi yébintu eyongera buli lukya okwekanama.
Abakwatidwa bonna babadde banna kibiina kya FDC bakulembeddwamu Doreen Nyanjula amyuka mayor wa kampala nómubaka omukyala owa Soroti Anna Ebaju Adeke.
Kubaddeko ne bakansala abakiikirira ebitundu ebyenjawulo, babadde bakutte ebipande nebizindaalo bimukalakaasa kwebayisizza obubaka obuvumirira ebbeeyi y’ebintu.
Omubaka Anna Ebaju Adeke ne Doreen Nyanjula obwedda bategeeza nti bannauganda bonna okujjukiza government obuvunanyizibwa bwayo nti kubanga yandiba yabwelabira.
Wabula bano babadde bekalakaasa police nebazingako bonna nebaggalira ku police ye Wandegeya.
Abakyala ba FDC webaviiriddeyo nga neyaliko president w’ekibiina Rtd.Dr.Kiiza Besigye naye akyawerennemba na misango gya kwekalakaasa ku nsonga yeemu.
Besigye akyali mu kkomera e Luzira, oluvannyuma lw’okugaana okusasula akakalu ka kooti ka bukadde 30, kooti keyali emulagidde okusasula ayimbulwe.
Mu ngeri yeemu FDC erabudde government yakuno nti ebikolwa ebyóbutemu byandyeyongera mu ggwanga lino, nga biva kubwavu obuluma bannansi n’ebbeeyi yébintu eyekanamye.
Mu lukungaana lwabanna mawulire olutudde ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi amyuka ssabawandiisi wékibiina kino Harold Kaija agambye nti government esaanye ebeeko kyekola ng’embeera tenasajjuka.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif