Abakyala 10 bebalindiridde okuggulwako emisango mu kooti egy’okukuba olukungaana ku lunaku lwabwe nga tebasabye lukusa lwa police.
Abakyala bano kuliko Kyeone Stella, Nakiku Allen, Namatovu Milly ,Nankya Fiona, Sselonga Rukia, Bulungi Jackie, Nantume Allen Sylvia,Ramuto Apio Flavia ne Nyanzi Elizabeth.
Abakyala bano police yabakwatidde Kalerwe Zone e Mulago mu gombolola ye Kawempe mu Kampala,babadde bakutte ebipande ebivumirira okutyoboola eddembe ly’obuntu, n’okusaba ab’Obuyinza bayimbule babba babanaabwe abazze bakwatibwa.
Ayogerera police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti abakwate babadde bawagizi ba National Unity Platform era baakuvunaanibwa okukuba olukungaana ku kitebe kya NUP e Kavule , awatali lukusa kuva eri police.
Onyango agambye nti abakyala bano bakozesezza akakisa k’okukuza olunaku lw’abakyala okukungaana mu ngeri emenya amateeka.#