Akakiiko akalwanyisa enguzi mu Maka gwobwa president aka Anti Corruption Unit akakwasibwa omulimu gw’okunonyereza ku mivuyo egyali mu kulonda kwa ssentebe wa District ye Bukedea, kakutte akulira eby’obukessi mu district eyo,omumyuka w’akulira eby’okunoonyereza ku misango n’abasirikale abalala.
Abakwatiddwa ye D/ASP Ehguloiti Alex, PC Akankwasa Onesmus, D/C Oriokot Simon Peter, PC Kamakoin Difas , PC Naibei Born
Akulira akakiiko kano Brig Gen Henry Isoke ali mu district eyo, ku kiragiro kya president Museven eyamulagidde okunoonyereza ku vvulugu yenna eyali mu kulonda kwe Bukedea oluvannyuma amuwe alipota entongole.
Abakwate bagiddwako sitatimenti ku byaliwo, okusobola okukola okunonyereza obulungi.
Abakulu mu kakiiko kano bagamba nti bakwogera okukwata abakungu abawerako mu District eno, kuba okunonyereza kwebakafunawo kulaga nti bebaasinga okuvaako emivuyo gyonna egyalabwako mu kalulu.
Kitegerekese nti abakwatte basuubirwa okutwalibwa mu kooti bennyonyonyoleko ku mivuyo gyonna egiboogerwako.
Ekifo kya district ye Bukedea kyalangirirwa nti kikalu oluvanyuma lwokufa kweyali Ssentebe wa District eyo Moses Olemukan, era Electoral Commission netegeka okulonda okwaliwo nga 14 June,2023 nebalonda Ssentebe omuggya.
Munna NRM Mary Akol, ye yalonddeddwa nga Ssentebe wa LC 5 owa district ye Bukedea ,wakati mukulwanagana n’emivuyo mingi okwalabikidde mu kalulu kano, omwali n’okwambula engoye omu kubaali bavuganya.
Abakungu mu Anti-Corruption Unit bategezeza CBS nti bakumala wiiki namba mu District ye Bukedea nga bakola okunoonyereza, oluvanyuma batwale alipoota eyawamu eri mukama wabwe President Museveni ku byebanaaba bazudde, ate abalala nga bwebewozaako mu kooti.
Bino webijidde ng’aboludda oluvuganya government nabo bazze bemulugunya ku mivuyo egyeyolekera mu kalulu kokuddamu okulonda ku bifo ebyenjawulo, era nga byonna biwanguddwa ba NRM.#