President w’ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, Eng Moses Magogo, atongozza omusomo gw’okubangula abavunaanyizibwa ku club za liigi ya babinywera eya Uganda Premier League okufuna obukugu obuzituusa ku mutendera gw’ensi yonna.
Omusomo guno gutegekeddwa FUFA ng’ekolagana n’ekibiina ekiddukanya omupiira e Bulaaya ekya UEFA, gugenda kumala ennaku 5 ku Imperial Royale Hotel mu Kampala.
UEFA yasindise abakugu baayo 3 okuli Eva Pasquier, Miranda Pedro ne Kenneth Macleod okubangula club zino, munteekateeka ya UEFA Assist Programme.
Eng Moses Magogo bwabadde aggulawo omusomo guno, agambye nti bagala club zituuke ku kkula ery’okuyiga okweyimirizawo mu byensimbi, kuba club nnyingi zigudde olw’obutaba namakubo gavaamu nsimbi ate n’obutamanya bwe bakola nsimbi zino.