Akakiiko ka parliament akalondoola ebisuubizo bya gavumenti, kakusisinkana abakulira radio n’emikutu gy’amawulire gyonna egyaweebwa ensimbi okusomesa abayizi mu muggalo gwa covid19 okuzuula oba
ng’ensiimbi baazikozesa bulungi.
Omubaka wa munisipaali y’e Mukono Betty Nambooze era ssentebe w’akakiiko kano, agamba nti bakizudde nga ministry y’ebyenjigiriza yaduumuula ensimbi ezigambibwa nti zaweebwa emikutu nga kwebavudde bayite abagiddukanya bategeeze palament ensimbi zebaafuna n’enger gyebazikozesaamu.
Nambooze era agambye nti baagala okuzuula oba ddala ensimbi ministry zegamba nti zeyakozesa mukusomesa abayizi nga eyitta ku mikutu gyempuliziganya zeezo ntuufu kubanga balina obweraliikirivu nti abayizi tebaafunamu nga bwebaali bateekeddwa.
Nambooze ategeezezza nti ministry yaweebwa obuwumbi 142 okugulira abaana eby’eyambisibwa mu kusomera awaka n’okubasomeseza ku raido ne mikutu gy’amawulire emirala ate nti nebafuna n’obukadde obwa dollar 15 okuva mu
America nga kati baluubirira kumanya mazima ku nsonga eno.