Abasomesa b’amasomo ga Arts mu Uganda bakukkulumidde government olw’okulwawo okubongeza emisaala, so nga bannabwe aba sciences ne ICT ab’emitendera egy’enjawulo baabongezza.
Government yayongezza emisaala gy’abakulu b’amasomero abalina obukugu bw’okusomesa science, n’abasomesa ICT abaali baalekebwa ebbali mu nteekateeka eyasooka.
Abakulu b’amasomero abalina obukugu mu masomo ga science baali baagala okuva ku bukulu bw’amassomero basigale mu kusomesa, olw’okuba nga baali tebongezeddwa misaala.
Kaakano abakulu baamasomero aba science bakufuna obukadde 6 abali mu government, abamyuka baabwe bakusasulwa obukadde 4 n’ekitundu.
Abasomesa ababulijjo aba science bakusasulwa obukadde 4 abalina degree ate abalina deploma basasulwa obukadde 3.
Filbert Baites Baguma, ssabawandiisi w’ekibiina ekitaba abasomesa agambye nti enkola eno ey’okusosola mu basomeaa aba science ne Arts ebamalamu amaanyi, ekiyinza okuviirako abasomesa ba Arts okudduka mu mulimu guno, n’abalala okubeera mu kwekalakaasa buli kadde ekikosa ebyenjigiriza.
Dr Denis Mugimba ayogerera ministry y’eby’enjigiriza agambye nti enteekateeka y’okwongeza abasomesa bonna emisaala ekoleddwa mu mitendera, nabasa aba Arts okubeera abagumiikiriza.
Bisakiddwa: Ddungu Davis