Abakulembeze mu Acholi baliko obukwakkulizo bwebawadde government, bwebagala butuukirizibwe mu nteekateeka zonna ez’okuwerekera abadde sipiika wa parliament omugenzi Jacob Oulanyah.
Anthony Akol omubaka wa Kilak North era ssentebe wakabonda k’ababaka ba parliament abava mu Acholi, agambye nti obumu ku bukwakkulizo buno bagala government okukkiriza amazina agobuwangwa bwa Acholi okuzinibwa nga baziika Oulanyah awamu neku kisaawe e Ntebbe ngómulambo gwe gukomezebwawo.
”Jacob Oulanyah abadde anyumirwa nnyo okuzina n’okuvuga ddigi ennene (pikipiki)” bye bimu ku bintu ebyogeddwa ku Jacob Oulanyah okuva lweyafa.
Omubaka Anthony Akol agambye nti basabye government era ekkirize enkiiko za district mu bendobendo lya Acholi, West Nile ne Lango zituule wamu zisiime emirimu Jacob Oulanyah gyakoledde eggwanga n’ekitundu kyobukiiko kkono bweggwanga
Bagala era government evugirire entambula ya bakansala bano okuva mu bitundu ebyo gyebabeera, okutuuka mu kifo ekyawamu ekinaaba kikaanyiziddwako okutuuzibwamu olukiiko lw’okusiima omugenzi.
Okusinziira ku Anthony Akol obukwakkulizo buno bwonna government yabukkirizza okubutuukiriza.
Minister w’ensonga z’obwa President Milly Babalanda, yalangiridde nti wakufulumya enteekateeka entongole ey’okuziika Jacob Oulanyah ku lwokubiri olujja.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yalonda Milly Babalanda minister we owensonga zobwa president, okukulira akakiiko akagenda okuteekateeka okuziika kwa Oulanyah.
Akakiiko kano kaliko ba minister, kaliko ababaka ba parliament, kaliko abakulembeze ba Acholi Oulanyah gyava, kaliko abebyokwerinda n’abalala.
Yusuf Kirunda omumyuka w’omwogezi w’amaka gobwa President agambye nti enteekateeka eno enaafulumizibwa minister Babalanda kulwokubiri, yejja n’okutegeeza eggwanga,omulambo lwegunaakomezebwawo kuno, okuva mu kibuga Seattle ekya USA gyegukyali era gyeyafiira.