Katikkiro mungeri yeemu asabye abasuubuzi mu ggwanga lyonna okumanya entambuza y’ebyobusuubuzi ey’Ekyasa kino, baleme kwesiba ku nkola ya business eyayitako.
Katikkiro abadde ku Sheraton hotel mu nsisinkano n’abakungu ba kampuni y’eby’essimu eya Airtel Uganda, n’abaweereza mu Bwakabaka bwa Buganda omuli ba minister, ba ssentebe ba board, abaami ab’aMasaza, ba ssenkulu b’ebitongole n’abaweereza ku mitendera egy’enjawulo.
Basomeseddwa ku nkola y’emigabo egitundibwa mu kampuni ezitali zimu n’engeri omuntu gy’asobola okuganyulwa ng’asize ensimbi mu migabo.

Katikkiro agambye nti Obwakabaka bwenyumiririza mu mukago gwebwakola ne kampuni ya Airtel okukulakulanya abantu.
Omumyuuka asooka owa Katikkiro Owek Twaha Kigongo Kawaase, asabye banna Uganda okuba abalabufu nókubuuza nga ebibuuzo ebyetagisa ku kampuni zebabeera basazeewo okusigamu ensimbi.
Alabudde bannansi ku bantu n’ebitongole ebyefuula ebikolerera abantu so nga bulimba bwennyini,n’asaba okugula ensimbi ku katale k’emigabo akalungamiziddwa amateeka ga government ya Uganda.
Ssenkulu wa Airtel Uganda Manoj Murali ,agambye nti obumu obwooleseddwa Airtel Uganda n’Obwakabaka bwakusobozesa abantu bonna okutambulira awamu ne kampuni ya Airtel.
Bisakiddwa: Kibuuka Fred ne Kato Denis