Abakugu bano abali mu lukungꞃaana lw’ensi yonna olukwata ku nkozesa, entereka nenkuꞃaanya y’omusaayi olwatuumiddwa Africa Society for Blood Transfusion (AfSBT) congress oluyindira ku Speke Resort e Munyonyo, lwatandise nga 04 March, lukomekkerebwa nga 7 March,2024 bagamba nti Uganda ekuꞃaanya omusaayi mungi ddala kyokka nti enkozesa yaagwo yekyetaaga okutereeza.
Bawadde eky’okulabirako nti abantu abamu babeera tebetaaga musaayi mungi nga babeera betaagamu birungo bituno, wabula bakomekkereza bateereddwako omusaayi mungi ekiteekawo embeera y’okugwonoona.
Ekitongole ky’eby’obulamu mu nsi yonna ekya World Health Organization, (WHO), kiraga nti omusaayi wakati w’ekitundu 1 – 7% ogukuꞃaanyizibwa, gwonoonebwa olw’okukwatibwa obubi naddala mu mawanga agakyakula nga ne Uganda mwogitwalidde.
Dr. Aggrey Dhabangi, omusomesa ku Makerere University ate omukugu mu by’omusaayi, agamba nti kyetaagisa okubawo enkola eyenjawulo mu nkuꞃaanya n’engaba y’omusaayi ku balwadde okwewala okugwonoona n’okufiirizibwa.
Dr. Dorothy Kyeyune Byabazaire, ssenkulu w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku musaayi mu ggwanga ekya Uganda Blood Transfusion Services, agamba nti olukungaana luno lwongedde okubabangula ku ngeri y’okukwatamu omusaayi, okugusunsula n’okugugaba.
Dr. Charles Olaro omumyuka wa ssentebe w’olukuꞃaana luno era nga yaakiikiridde omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyobulamu, agamba nti abavunaanyizibwa ku kukuꞃaanya omusaayi balina n’okusala amagezi agasomesa abantu okwewalamu endwadde ezimu ng’omusujja gwensiri, nti kubanga gwegumu ku guleetera abantu okugwamu omusaayi nebabeera nga balina okussibwako omulala.
Bisakiddwa: Ddungu Davis