Ekitongole kya Makerere University eky’ebobulimi nga kiri wamu ne Michigan University mu America, nga bakulembeddwa omubaka wa parliament akiikirira Buikwe South Dr. Lulume Bayiga okunoonyereza ku biremesezza abantu okulwanyisa obwavu nga bayita mu bulimi.
Enteekateeka eno bagituunye Farmer Field School Summer Project.
Abakugu bano mu kunoonyereza kwabwe basisinkanye abalimi abenjawulo ku byalo okuli Lugasa, Wabusolo, Kawuna,Buwogole nebirala mu gombolola ye Ngogwe.
Mu nteekateeka eno mulimu n’okubasomesa ku nnima ey’omulembe eyinza okubayamba okweggya mu bwavu nga beyambisa ettaka, n’okunyweza obwegassi.
Abalimi bekokkodde ebibasomooza omuli eddagala erikozesebwa okubeera ku buseere ate nga erimu lya biccupuli, bangi nebasigala kwerimira mmere ya leero.
Akulira abakozi ba government mu district ye Buikwe Dunstan Balaba ategezezza nti district yakugunjaawo obukulembeze bw’abalimi okuva ku byalo, kibayambe okunyweza olujegere n’empuliziganya okusobola okwogeza eddoboozi limu ku by’obulimi.
Professor Laura okuva mu University y’e Michigan mu Amerika ne Dr Florence Birungi owa Makerere University bategeezezza nti emisomo gino gyamubayamba okutambulira awamu n’abalimi okwongera ku bungi bw’emmere ey’okulya n’okutunda.
Bisakiddwa: Ssebwami Denis