
Abakozi abawera obukadde bubiri n’emitwalo kyenda (2.9) abaali bakola mu bitongole ne kampuni ezenjawulo, bebaafiirwa emirimu olw’omuggalo ogwaleetebwa ekirwadde ki Covid 19.
Ku bano kuliko abavubuka ebitundu 24% bebaafiirwa emirimu.
Ate bbo abakozi ebitundu 35% abasigaza emirimu, emisaala gyabwe gyasalibwako.
Waliwo n’abantu abaali bekozesa nabo baafiirwa emirimu gyabwe, olw’okulemererwa okusasula sente z’obupangisa ez’ebifo byebakoleramu n’ensonga endala.
Minister avunaanyizibwa ku nsonga z’ekikula ky’abantu n’abakozi Betty Amongi, abadde ku media Centre mu Kampala, n’agamba nti okudobonkana kw’ebyenfuna kwaleetera ebitongole ne kampuni z’obwannanyini okuggalawo n’ezimu nezisala ku bakozi.
Among agambye nti ng’eggwanga lyetegekera okukuza olunaku lw’abakozi ku Sunday ejja nga 01 May, 2022 government yasazeewo okwongera amaanyi mu kusitula ebibiina by’obegassi, byegamba nti byakuyambako okuzza embeera engulu n’enteekateeka endala ezikoleddwa.
Mulimu eya Development Parish model, emyooga,okukendeeza ku magoba agowolebwako bank z’ebyobusuubuzi,okwongera okutendeka abavubuka emirimu gy’ebyemikono n’okubawa ebikozesebwa n’ebirala.
Emyaka giweze ebiri miramba okuva omuggalo gwa covid 19 gutandika, nga 20 March,2020.