Abakozi mu bitongole by’Obwakabaka battunse mu mizannyo egy’enjawulo, mu nteekateeka y’okutumbula obumu n’okukuuma emibiri gyabwe nga miramu.
Emizannyo gino kuliko omupiira ogw’ebigere, okubaka ne Volley Ball n’emizannyo emirala ng’entegeka eno ebaawo buli mwaka mu Lubiri e Mengo.
Empaka ezaakamalirizo zaakubaawo nga 04 November, mu Lubiri e Mengo, wamu n’emuzannyo emirala omuli okudduka, okutambuliza eggi ku jjiiko, okusika omugwa n’emirala.
Ebitongole kuliko CBS radio, BBS Telefayina, Buganda Landboard, Nkuluze, Mengo Administration, Buganda Heritage and Tourism Board, Lubiri high school, Nnaabagereka Development Foundation, Muteesa I Royal University, Buganda Royal Institute, K2 telecom, Nnaabagereka Primary School, Mengo Palace, Werinde Insurance, n’ebirala.
Bw’abadde aggulawo emizannyo gino Minister w’emizannyo, abavubuka n’ebitone Owek Robert Sserwanga, agambye nti obumu yentabiro y’enkulakulana mu bantu
Asoomozezza abakozi mu bitongole by’obwa Kabaka okukuuma obumu okusobola okutumbula embeera zabwe n’ez’abantu ba Ssaabasajja abalala.#