Kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi egobye misango egivunaanibwa abakungu b’akakiiko k’ettaka aka district y’e Wakiso oluvannyuma lwoludda oluwaabi okulemererwa okuleeta obujjulizi obubaluma.
Mu bejjerezeddwa kuliko Nurah Businge awandiisa ebyapa mu ministry y’ebyettaka e Wakiso, Andrew Mwanje, Nicholas Wamboga, Monica Katushabe, Japhery Bekalaze ne Doreen Mpumwire nga bakola ku nsonga zattaka ku district e Wakiso.
Baakwatibwa mu 2019 akakiiko aka State House Anti-Corruption Unit bwekaafuna okwemulugunya ku ngeri ensonga z’ettaka gyezikwatibwamu ku district eyo.
Abawawabirwa babadde bavunaanibwa emisango 17 okuli egyokukozesa obubi ofiisi ssaako okufiiriza government sente eziri mu bukadde bwa shs 54.
Oludda oluwaabi lugamba nti emisango gino bagizza mu 2017 ne 2018, olw’enkola yabwe ey’emirimu eyavaako vvulugu mu ofiisi ya ministry y’ettaka e Wakiso government nefiirwa obukadde bwa shs 54.
Wabula omulamuzi Moses Nabende agobye emisango egyabaggulwako, olw’oludda okuwaabi okulemererwa okuleeta obujulizi.
Bisakiddwa: Betty Zziwa