Abakozi b’ekitongole kya Kampala Capital City Authority abeera ku nguudo bazeemu okugumba ku kitebe kya KCCA, babanja omusaala gwa myezi 5 bagamba bakooye okubanja nga tebasasulwa.
Bategeezezza nti babanja emyezi 5 naye n’okutuusa kati tebasasulwanga.
Gyebuvuddeko bekalakaasa nebeyiwa ku parliament ya Uganda, era sipiika wa parliament Anitah Annet Among n’abakulu abalala ensonga zino nebaziyingiramu.
Sipiika yalagira KCCA ebasasule ensimbi zabwe zonna zebabanja.
Bagamba nti baakoma okusasulwa mu mwezi gwa November,2023.
Abakozi abeera ku nguudo ng’abasinga bakyala, basoose kugumba ku kizimbe kya City Hall mu Kampala, nga bagala abakulu bababuulire omusaala gwabwe wegutuuse.
Balabye tewali abanyega kwekusalawo okuyingira munda mu kizimbe nga bakonkona ofiisi emu kwemu naye ng’abazirimu beggaliddemu.
Bavudde mu mbeera nebasalawo okutandika okukuba emiranga n’enduulu.
Wabula abakulu mu KCCA tebanavaayo kubaako kyebannyonyola ku nsonga eno.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius