Ensimbi z’omuwi w’omusolo obuwumbi 19 zezaasasulwa abakozi ab’empewo mu government ez’ebitundu mu mwaka gw’ebyensimbi 2021/2022.
Akakiiko ka parliament akalondoola ensaasaanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo mu government ezebitundu,kazizudde kekeneenya vvulugu eyanokolwayo mu alipoota ya ssababalirizi w’ebitabo bya government John Muwanga.
Akakiiki kakulemberwa omubaka wa Kilak South Gilbert Oulanya amyukibwa omubaka wa Nakaseke South Lutamaguzi Ssemakula.
Abakozi b’empewo kuliko abasomesa abasasulwa ensimbi naye nga bakozesa mpalula njingirire.
Alipoota eno eraze nti mu district ye Kakumiro abakozi 10 ebempewo babadde baasasulwa obukadde 74 okumala emyaka 3 songa mu district ye Agago abakozi ebempewo 6 basasulwa obukadde 56.
Parliament esazeewo wabeewo nti police enoonyereze ku buzzi bw’emisango ku bakozi abo ebempewo,bavunaanibwe mu mateeka n’ensimbi zebabadde bafuna bazizeeyo mu ggwanika ly’eggwanga
Mu mbeera yeemu, palament esazeewo nti wabeewo nokunonyereza okuba kukolebwa ku ministry yebyenjigiriza ku ngeri abasomesa ba secondary abempewo gyebatuukamu ku lukalala okusasulirwa.#